Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi,era nga y’akikwattidde bbendera mu kalulu k’omukulembeze w’eggwanga agamba nti ssinga awangula obwa pulezidenti gavumenti ye tegenda kugoba balimi bamuceere mu bisenyi,okujjako okubatendeka mu nnima etakosa butonde bwansi.Ono agamba nti okugobaganya abantu ku ttaka oba obutalima muceere mu bisenyi y’emu ku nsonga eviiriddeko abantu be Busoga okulumwa obwaavu. Bino abyogedde bwabadde akuyega abalonzi mu disitulikiti ye Bugweri ne Namutumba gy’asiibye olwaleero.
Robert Kyagulanyi abalimi b’omuceere waakubaleka mu ntobazi
1 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found