Kitutte ebbanga ng’abakyala abalina kebeekoledde bafuuka nyama y’abafere kko ne bannakigwanyizi, ababekukuutiriizaako nga baagala okubanyagako ebyabwe byebeekoledde.Kati leero tugenda kulaba emboozi y’omukyala Margaret Meri ow’emyaka 60 eyafiirwa buli kimu kyeyalina mungeri gyoyinza okuyita eyekifere , okukakana nga eby’obugagga byeyalina ebibalirirwamu obukadde obusoba mu 600 byonna birugenze.