Abawala bangi bafumbirwa tebamazeeko yadde pulayimale ol'obwavu e Soroti
Laba embeera y’amaka ku kyalo Olombai mu ggombolola y’e Kamunda mu district y’e Soroti, omuli okuzaala abaana abangi kyokka nga okusinga omugugu gw’okubalabirira guli mu mikono gya bannyaabwe. Olw’obwavu, abawala bangi bafumbirwa tebamazeeko yadde pulayimale, nga mulimu n’abalowoozebwa okukweka emyaka basobole okufumbirwa nga tebanneetuuka. PATRICK SSENYONDO yabaddeko mu bitundu by’e Soroti y’alina ebisingawo.