Bannamateeka bagamba ebigambo bya Museveni ku kkooti y’amagye bya bulabe
Bannamateeka ab'enjawulo bawakanyizza ebigambo bya president Museveni nti kkooti y’amagye ekoze gwa maanyi okutebenkeza eggwanga bw'ezze ng'esalawo na ddala ku misango eğirimu okukozesa emmundu.Bannamateeka bagamba nti obubbi, n'obutemu obulimu emmundu byeyongedde mukiseera kino, kyokka nga kkooti y’amagye terina nnyo ky'ekozewo okuvunaana abantu bano.
Bano bagamba nti kasita Museveni avuddeyo n'ategeeza nga kkooti y’amagye bwerina ebbeetu okuwozesa abantu babulijjo, kigenda kuwa kkooti eno ekyaanya okuvunana abantu babulijjo nga bakimanyi bulungi nti omukulembeze w'eggwanga ali mabega waabwe, wadde nga bavvoola amateeka.