Fr Ssebunya ayambalidde abatendeka abaana ebitaggya mu myaka gyabwe
Ekeleziya eyagala gavumenti etandike okulondoola enyimba eziyimbibwa abayizi ku bubaga obw'enjawulo naddala obuggalawo omwaka gw'ebyensoma oba Speech Day, ng'egamba waliwo amasomero agatendeka abayizi ennyimba n'amazina ebitagya mu myaka gyabwe. Bino byogeddwa Rev Fr Joseph Mary Ssebunya mukuyimba mmisa y'abaana etegekeddwa ku Lutikko e Lubaga nga ekeleziya yeefumiitiriza ku lunaku lw'abaana abaalangibwa obusa.