Eby’okuwera okutwalira Besigye emmere: Ab’amakomera bagamba asobola okulya ku gye tufumba
Abakulu mukibiina ki FDC ekiwayi ekituula ku luguudo Katonga balumiriza abakulira ekitongole ky'amakomera okubagaana okutwalira Dr. Col. Kiiza Besigye emmere eva e bweru ne bamukaka okulya efumbiddwa e Luzira yokka . Bagamba nti okuzuula bino baamaze kukyalayo , kyokka ne bagaanibwa okuyingiza emmere gyebazze nayo bbo kye bawakanya. Kyoka ayogerera ekitongole ky’amakomera Frank Baine bino abiwakanyizza , nagamba nti emmere ereetebwa ekeberebwa era nekkirizibwa okuyingira, songa neyaabwe gye bafumbira abasibe ejjudde ebirungo.