“ETTAKA LYANGE LIGENDA”: Eyeewola ssente ku ba ‘money lender’ yeekubidde enduulu
Waliwo omusajja omubalirizi w’e bitabo Chris Mukooli Henry asemberedde okufiirwa ettaka eriweza obugazi bwa yiika mukaaga, oluvanyuma lw’okwewola ensimbi okuva ku muwozi w’ensimbi naalemwa okusasula mu budde. Tukitegedde nti mukooli yeewola obukadde 11 okuva mu Bei Investment Ltd, kyoka naamala emyezi musanvu nga tasasula, kati omuwozi w’ensimbi ono amutaamidde ayagala obukadde 60 oba sikyo yezze yiika z’ettaka 6 zeyateekayo ng’omusingo.