Kasasiro w’e Kiteezi akedde okukwata omuliro asattizza aba KCCA
Abakulu okuva mu kitongole ki Kampala ki Kampala Capital city authority bakkedde kusatira olw’akasasiro w’e Kiteezi akedde okukwata omuliro. Nankulu wa KCCA Sharifa Buzeki atubuulidde nti omuliro guno guvudde ku mukka oguyitibwa Methane ogusangibwa mu kasasiro ono nga guno gukwata mangu omuliro.