“Lwaki mutuuyira kasasiro?”Ab’e Gimbo batabukidde aba Nabugabo
Ku kyalo Gimbo ekisangibwa mu ggombolola ya Wakiso - mumyuka mu district ye Wakiso, abatuuze baayo batya nti akadde konna bandirumbibwa endwadde eziva ku buligo olwa Kasasiro ayiibwa mu kitundu kyabwe. Tukitegedde nti Kampuni eyoola Kasasiro eya Nabugabo Updeal yagula ettaka mu kitundu kino era nga kati w'eyiwa kasasiro waayo, oluvanyuma lw'ekifo ky'ekiteezi okuggalwa. Abaddukanya Nabugabo basabye abatuuze okuguumikiriza kubanga akadde konna bagenda kukomya eky'okuyiwa kasasiro mu kitundu kino.