Ettemu e Kiryandongo: Abakuumi babiri batemaatemeddwa
Waliwo abanyazi abalumbye amasundiro g’amafuta abiri mu disitulikiti y’e Kiryandongo ne batta abakuumi ba Kampuni y’obwannanyiini babiri kwossa n’okukuulita n’ensimbi ezibalirwamu obukadda obusoba mu kkumi mu kiro ekyakeeseza olunaku lw’eggulo. Poliisi mu kitundu kino etutegeezezza nti etandise okuyigga bakyalakimpadde bano.