E Bushenyi abasajja bangi badduse mu maka lw’akubatulugunya
Kizuuse ng’obutabanguko mu maka naddala obulimu okutulugunya abasajja bweyongedde mu district y’e Bushenyi ng’abakyala bakakkana ku baami baabwe n’ebabaligita emigoba nte. Emisango egy’engeri eno gigenda gy’eyongera buli olukya nga giviriddeko abasajja baangi okuffa ekisiiri nga batya okuswaala singa boogera nti abakazi baabwe babakuba. Leero, tukuleetedde emboozi y’abaami abaludde ebbanga nga batimpulwa kyoka nga bafuuse kyesirikidde olw’okutya okuswaala.