NIRA erabudde abanjula ebifaananyi
Ekitongole ki NIRA nga kati ky'ekivunayiizibwa ku kuwandiisa obufumbo kirabudde abantu abegumbulidde omuze gw'okufumbirwa ebifaananyi nga byebatwala ku buko ne mu masinzizo. NIRA egamba nti kino kimenya amateeka g'obufumbo kubanga omuntu oyo ayogerwako mu bufumbo ateekeddwa okubeerawo mu buntu. NIRA ebadde esisinkanye abakwatiibwako ensonga z'obufumbo omuli bannamateeka ne bannaddiini okwongera okuttaanya engeri kino gy'ekigenda okutandika okukolebwamu okuva obuvunaanyizibwa buno lwe bwaggyibwa ku URSB.