Minisita Balaam; Teri yakaka Olivia Lutaaya kukkiriza
Minisita avunaanyizibwa ku baana n'abavubuka Balaam Barugahara atubuulidde nti bannakibiina ki NUP bonna e 19 abaaweebwa omukulembeze w'eggwanga ekisonyiwo, be baakyeesabira nga abantu era mpaawo yabakaka kukkirizza misango gyali gibavunaanibwa. Wiiki ewedde, bano baava mu kkomera oluvannyuma kumpi lw'emyaka 4, era abo abatuukira ku buzindaalo bwa bannamawulire, baasambajja ebyogerwa nti emisango baagikkirizza kyeyagalire. Balaam ono atulaze n'ekyayita obukakafu nti ddala bano baali mu kuyagayagga okufuna ekisonyiwo ky'omukulu.
Bbo ab'oludda oluvuganya bagamba nti ekituufu Balam akimanyi nti abantu baabwe baabassa ku nninga.