Laddu e Kyegegwa eyokedde abaana n’omwana waabwe mu nju
Abatuuze mu district y'e Kyegegwa basabye gavumenti okubafunira obuuma obukwata laddu nga kino kiddiridde okuba nga mu bbanga lya mwezi gumu, abantu 7 be baakafa olwa laddu ezifuuse ekizibu mu district y'e Kyegegwa. Mu kiro ekikeseezza olwlaeero, waliwo abantu abalala basatu abakubiddwa laddu ku kyalo Kyankunyule mu ggombolola y'e Migongwe. Mu baafudde mulimu n'omwana wa myaka 3 era nga laddu yakubye enju mwe baabadde n'ekwata omuliro.