“LWAKI TOTUWA DISITULIKITI?” Abakulembeze b’e Kasambya bakukkulumidde Museveni
Abakulembeze okuva mu district ye mubende naddala eggombolola ezikola constituency ye Kasambya bakukkulumidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni olwokubeerabiranga buli lwagaba district. Bano bagamba nti mu mwaka gwa 2011 ono bwe yali anoonya akalulu mu kitundu kino yabasuubiza okufuula Kasambya district eyotongodde okuva ku ye Mubende kyoka nga nokutuusa kino tekituukiriranga.