‘Mutusonyiwe’, amagye geetonze ku by’e Kawempe
Amagye ga UPDF geetondedde eggwanga olw'effujjo elyakolebwa ab’ebyokwerinda mu kulonda okw’okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe South okwaliwo nga 13th omwezi guno. Amyuka omuduumizi w'amaggye Lt. Gen Sam Okiding abuulidde ababaka abatuula ku kakiiko ke by'okwerinda nti baakizuula nga abamu ku baserikale baabwe basiiwuka empisa, era nga okunoonyereza ku baakola ebikolobero bino kugenda mu maaso.