‘Mwebale omulimu,’ Museveni asiimye ababaka olw’okuyisa etteeka lya UPDF
Omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni asiimye ababaka ba Palamenti ,okulwana obwezizingirire ne bayisa ebbago ly’eteeka elyaakoze enongosereza mu teeka ly’amaggye. Pulezidenti agamba nti ababaka bano ba mwoyo gwa ggwanga baayambye nnyo eggwanga okwetangira abazzi b’e misango abeyambisa emundu , kyoka nga baagala bakwatibwe nga bambejja.Bino yabyogedde kawungeezi k’eggulo bweyabadde asisinkanye abakulembeze mu bendobendo lye Luweero- mu kulambula kw’alimu okwokulaba emkola ya Parish Development Model bwetambula.