Nnamungi w’omuntu yeetabye ku mukolo e Namasagali okuziika FR. Grimes
Gavumenti yaakuteeka obuwumbi 2 n’obukadde 800 mu kuddaabulula essomero lya Namasagali okuzzaawo ettutumu lye lyalina ku mulembe gwa Fr. Damien Grimes we yalikulembereramu. Bino byogeddwa ku mukolo gw’okuziika Fr. Damien munnabyanjigiriza era eyaliko omukulu w’essomero lino.Omubiri gwa Fr Damien Grimes olwaleero gugalamiziddwa mu nnyumba yaagwo ey’olubeerera ku kyalo kyalo Kabaganda mu muluka gw’e Namasagali.