“Oyinza Otya?” Eyayiwa kasasiro mu mwala akaligiddwa
Ronald Katende abadde akola egyalejjalejja e Katwe eyakwatibwa ku katambi ngayiwa kasasiro mu mwala asindikiddwa ku alimanda oluvannyuma lw’okuggulwako omusango mu kkooti ya City Hall wano mu Kampala. Mu katambi akasasaanidde ku mikutu gya social media egy'enjawulo Katende ono alabwako ngaggya kasasiro mu ka tuku tuku ke n’amuyiwa mu mwala wakati mu nkuba efudemba. Katende yakwatiddwa eggulo era abadde akuumirwa ku CPS mu Kampala gyagiddwa leero okuleetebwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako Edgar Karkire. Katende omusango agukkirizza era n’asaba kkooti emuyimbule ku kakalu kaayo kubanga Mukyala we alindirira okuzaala ate nga yamulabirira. Okusaba kwa Katende Omulamuzi akugaanye bwatyo n’amusindika ku alimanda e Luzira okutuuka nga 15 omwezi guno nga n’oludda oluwaabi bwerukyakungaanya obujulizi obumuluma. Kati , Katende yanditanzibwa engassi ya bukadde 11 ng’ekibonerezo ekirambikibwa mu tteeka erirungamya eby’obutonde.