Alipoota eraga nti Uganda ekola bubi mu bukuumi mu meekalirizo ga sayansi
Omuntu yenna bw'alwala n'agenda mu ddwaliro, abasawo bamanyi okubasindika mu meekaliririzo g'eddwaliro oba Labaratory beekebejjebwe okuzuula ekituufu ekiba kibaluma. Kyokka eky'ennaku, kizuuliddwa nti mu meekalirizo mangi, singa wabeerayo embeera egwawo okwetaasa kiba kizibu olw'engeri nnyingi gye zatekebwatekeebwamu. Abakola mu labaratories zino be basinga okuba ku bwerende kubanga ate bbo bazibeeramu obudde bwonna nga balinda abalwadde oba nga bakola okunoonyereza.