Ssaabalabirizi Kaziimba Mugalu avumiridde eky’ababaka okwezibika obukadde e 100
Ssaabalabirizi w’e kanisa ya uganda Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu munyikaavu n’engeri abakulembeze gye batandise okwezibika ensimbi z’omuwi w’omusolo, ne baleka bannansi nga bayagga. Kazimba agamba nti yennyamidde bweyawulidde ebigambibwa nti waliwo ababaka abaweereddwa ensimbi obukadde 100 buli omu,mu ngeri nakati etanategeerekeka. Bino abitugambye awa obubaka bw’amazuukira eri abakulisitaayo bonna mu ggwanga.