"Temuggwamu maanyi" Katikkiro agumizza abalimi ku mmwanyi
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayagala abalimi b’emmwanyi mu ggwanga baleme kuggwamu maanyi newankubadde ebbeeyi gyebuvuddeko yatandika okusereba. Katikkiro agambye nti okukka kw’ebbeeyi y’emmwanyi kisuubirwa era nga bwekiba ku birime ebirara ebitundibwa ku katele k’ensi yonna, kale nga kino tekirina kwennyamiza bazirima. Mu kaseera kilo y’e mmwanyi ya kase eyali egula wakati wa nusu 18,000 ne 19,000 kati eggula wakati wa nusu 8,000 - 9,000.