Ab’e Kabale baanirizza eky’okulonda Zeija ku bumyuka bwa ssaabalamuzi
Abantu mu bitundu bye Kigezi baanirizza okulondebwa kw’omulamuzi Flavian Zeija ku ky’obumyuka bwa Ssaabalamuzi w’eggwanga okudda mu bigere bya by’omulamuzi Richard Buteera agenda okuwummula mu gwokuna omwaka guno. Okutuuka okulondebwa mu kifo kino, Zeija y’abadde akulira abalamuzi ba Kkooti enkulu.Ng’oggyeko omulamuzi Zeija, Omukulembeze w’eggwa era aliko abalamuzi munaana beyalondedde mu kkooti ejulirwamu era nga yetaputa Ssemateeka so nga abalala 21 balondeddwa okugira nga bakolanga abalamuzi ba kkooti enkulu okumala emyaka ebiri.