Ab’e Kamuli bagamba tebayambiddwa kubunyazi bw’ente
Abatuuze mu zone y’e Bunono mu muluka gw’e Nabwigulu mu district y’e Kamuli batandise kusula na bisolo nga ente n’embuzi mu nju zaabwe olw’ababbi b’ebisolo abasusse mu kitundu. Bagamba ezimu ku nte ze bababbyeko baazigula ku nsimbi za gavumenti eza PDM era okuggyako okubasiba tebalina gye bagenda kuziggya.Patrick Ssenyondo ye yayiseeko e Kamuli n'alondoola okulaajana kw'abatuuze.