Ab'ebyenjigiriza bawadde Katovu Seed School alikulira omusiraamu
Abdu Mukiibi kati ye mukulu w'essomero lya Katovu Seed Secondary school omuggya oluvvanyuma lw'abasiraamu okwemulugunya ku mukulu w'essomero lino eyali ateereddwawo Onojjukkira nti abasiraamu mu disitulikiti ye Lwengo nga bakulembeddwa Disitulikiti Khadi beemulugunya ku mukulu w'essomero eyali aleeteddwa ku ssomero lino olwobutaba musiraamu Mukiibi yaggyiddwa mu disitulikiti ye kisoro gyabadde omukulu w'essoro lya Nyakinaama Seed secondary school