Taus Namujju: Wuuno munnamasaka akyusizza obulamu e Fort Portal
Emyaka 14 emabega Taus Namujju yava e Masaka gy'azalibwa n'agenda okukyalira ku muganda we eyali awangalira mu kibuga Fortportal, kyoka eno teyavaayo, oluvanyuma lw’okufuna ekilowoozo okutandika omulimu gwa salon. Nga ali mu Fortportal, yalaba okusomoozebwa abaana abawala kwe basisinkananga na ddala abo abalinga bawanduse mu masomero olw’okubulwa ebisale, bangi ku bano bagwaanga mu mikono emikyaamu nebamaliriza n’embuto. Kati yasalawo atandike okusomesa abaana nga bano basobole okufuna obukugu okwetandikirawo emirimu egyabwe.