ZUNGULU: Omubaka Barnabas Tinkasiimire agamba nti yawambibwa wiiki eno gyetukuba amabega
Omubaka Barnabas Tinkasiimire agamba nti yawambibwa wiiki eno gyetukuba amabega, era nebamuyisa bubi. Kyokka olwamala mbu nebamugabula obuuji anyweko. N'oluvannyuma lw'abavubuka ba NRM okuyisa eggaali mu kibuga, ba Kansala ba KCCA bagala kuyisa kiteeso ekikkiriza buli munnakibuga okuyita n'ennyondo okwerinda. Bino n'ebirala mu Zungulu.