Yunivaasite bagibanja: eye Kabale erina amabanja ga bukadde 200
Ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola ssente z'omuwi w'omusolo balaze obwennyamivu olw'ebitongole bya gavumenti obutasasula kkampuni oba bantu ababiwa ebintu bye bakozesa. Okwogera bino babadde basisinkanye abakulu abaddukanya Yunivasite ye Kabale, abamaze emyaka munaana nga tebasasula bantu baabawa bintu nga webutuukidde leero nga babangibwa obukadde obuli eyo mu bibiri Kitegeerekse nga gaumenti bwebanjibwa obuwumbi omutwalo gumu mu enkumi ssatu wabula nga mu mbalira yaayo eyomwaka gw'ebyensimbi guno yassaamu obuwumbi lukumi mu bina bwokka okusasula abagibanja