Ettaka erikaayanirwa e Kiboga: minisita Mayanja alagidde ettaka liddemu lipuntibwe
Minisita omubeezi ow'eby'e ttaka mu ggwanga Sam Mayanja alagide Munnamagye Maj. Gen Samuel Wasswa okuva ku ttaka ly'omugenzi nnazirwanako William Luwaga erisangibwa e Lwankonge Dwaniro mu district ye Kiboga,. Abaana ba Luwaga balumiriza munnamagye ono okweddiza ettaka lino eriweza yiika bitaano yadde nga ne munnamagye alumiriza yalifuna mu mateeka nga ne kkooti yakkaanya naye gyebuvuddeko