Aba bizineesi eziva mu ssente z’emyooga baagala gavumenti ebasonyiwe omusolo
Banna Uganda abatandiseewo emirimu egitali gimu nga beyambisa ensimbi gavumenti z’eyabawa okwekulakulanya eziyisibwa mu kitongole ki Microfinance support Centre mu nteekateeka y’emyooga baagala government ebalowozeeko nabo ebawe ebasonyiwe omusolo okumala ebbanga eggereke business zaabwe zisobole okukula. Bano bagamba nti kirungi government okusolooza omusolo ku buli business ekola amagoba naye essaanye erowooze ku business ezikyakula kubanga zetaaga kulerebwa sso ssi kukamulwa.