Aba DP balumirizza Mao okukweka enkalala z’ekibiina
Munnakibiina ki DP era nga ye mubaka akiikirira abantu ba Bukoto Central mu lukiiko lw'eggwanga olukulu Richard Ssebamala si musanyufu ne ssenkaggale w'ekibiina kye Nobert Mao gw'alumirira okubakwekako olukalala lw'ekibiina olw'abalonzi so nga balwetaaga okutandika okukuyega bannakibiina. Ssebamala ono ayagala kuvuganya ku kifo ekirimu Mao ono asobole n'okukwatiira DP bendera mu kalulu ka bonna akabindaabinda mu 2026.DP esuubirwa okutegeka ttabamiruka waayo nga 30 omwezi ogujja.Abakulu mu kibiina basambaze ebyogerwa Ssebamala nti waliwo olukwe lw'okumulemesa okwesimbawo.