Oluguudo lubomose, abagoba b’ebidduka bali ku bunkenke
Wabaluseewo obweraliikirivu mu bantu abakozesa oluguudo oluva e kampala okudda e Mityana oluvannyuma lw’ekitundu ku luguudo luno okubomoka nerugwamu nga kati akatundu akatono akasigaddewo abafuluma n’okuyingira ekibuga kebakozesa.Ekitundu ekyabomose kiri kumpi n’olutobazi lw’e Buyala ng’abekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo kitegeezezza nti kyaasindiseeyo dda abakugu baakyo okulwekebejja.