Aba NUP abaakwatibwa e Masaka, 12 kkooti ebazzizzaayo ku alimanda
E Masaka abavubuka e 12 abavunaanibwa ogw'okubba essimu saako ne ssente z'omusirikale nga bakozesa eryanyi n'okukuba abasirikale bakomezeddwawo mu kooti y’omulamuzi akulira kkooti ento Simon Toloko.Bano okukwatibwa baali ku mupiira ogwali gutegekeddwa munnakibiina kya NUP Lubowa Ssebina Gyaviira , Poliisi n’ebakwata nga ebalanga kukola fujjo.