E Ntoroko abatuuze bekalakaasizza lwa nguudo embi
Abatuuze ku mwaalo gwa Ntoroko bakedde kwekalakasa olw’embeera embi ey’o luguudo lwa 51km oluva e Karugutu okudda ku mwaalo guno oguyitako ebyamaguzi ebiva n’okugenda mu ggwanga lya Congo.Bano bagambye nti Pulezidenti Museveni yabasuubiza okukola oluguudo luno mu mwaka gwa 2014 wabula nakati tewali kigenda mu maaso nga basanze obuzibu okufuna obuweereza naddala okutuuka mu malwaliro nga n’ebisale by’entambula nabyo byayongezebwa.