Abatuuze bagamba kasasiro ayiibwa e Buyala atandise okubakosa
Ku ntandikwa y’omwaka, KCCA yatandika okuyiwa kasasiro ku kyalo Buyala mu gombolola ye Muduuma mu disitulikiti ye mpigi, nga kino kyaddirira okuyigulukuka kwa kasasiro eyali ayiibwa kiteezi natta n’abantu.Tutuseeko ku kyalo kino netusanga nga enkulakulana yeyongedde ku kyalo kino - olw’abantu abangi abakyeyunidde, songa waliwo n’okusomooza abatuuze kwe bakaaba.