Aba NUP abakkiriza emisango: Kkooti y’amagye egibasingisizza, wiiki ejja lw'ebasalira
Kkooti y'amagye etuula e Makindye esingisizza bannakibiina ki NUP 16 emisango egibadde gibavunaanibwa omuli okusangibwa n'ebyekuusa ku magye gattako okulya mu nsi yaabwe olukwe.Ku bano kuliko Olivia Lutaaya, Kakooza Muhydin,Rashid Sseguya,David Mafabi n'abalala.Bano gyebuvuddeko bakkiriza nti ddala emisango egibavunaanibwa baagizza era nga baagoba ne ba puliida baawe nebabasikiza ba puliida abajaasi.Olutuula luno terukkiriziddwamu munnamawulire yenna.