Abaana abaabadde basaliddwako amataba n’ebibamba e Kasese ne Mbale banunuddwa
Abaana ababiri abaalabikidde mu katambi nga bankokomalidde oluvannyuma lw’omugga Mubuku e Kasese okubasalako bamaze nebanunulwa. Abaana bano bakukyalo Kisojo ekisangibwa mu Town Council ye Mubuku mu disiitulikiti ye Kasese era nga kitegeerekese nti baabadde bagenze kutyaba nku omugga guno wegwabasaliddeko olw’amazzi gaagwo okweyongera olwenkuba efudemba mu nsozi z’ekitundu ekyo.