Eddwaliro lya Muteesa II enkya lwe likwasibwa Kabaka mu butongole
Omwaka oguwedde, obwakabaka bwa Buganda bwassaawo essente obuwumbi obusoba mu busatu okuzimba, okudabiriza n’okumaliriza amalwaliro ataano mu massaza okuli Ssingo, Kyagwe ne Buddu.Ekigendererwa kyakusembeza bujjanjabi eri abantu ba Kabaka, era ng’ekirabo kya mazaalibwa ga Beene ag’ensanvu, kya ddwaliro erituumiddwa Muteesa II Health Centre IV, era lino ly'agenda okuwa abantu be mu ssazza Ssingo.Bannasingo balaze essanyu olwa Kabaka okubalowoozako mu ntekaateka ze ez'okuzza Buganda ku ntikko.