Emizannyo mu baliko obulemu, Mpindi asabye gavumenti eyongere okuzimba ebisaawe
Akulira akakiiko akatwala emizannyo gy’abaliko obulemu mu ggwanga, Bumaali Mpindi asabye gavumenti eveeyo ekole ku ky’okuzimbira abazannyi bano ebisaawe byebasobola okweyamboisa nga bbo.Okusaba kwa Mpindi kugidde mu kiseera nga y’akamala okulondebwa ku kısanja eky’okusatu nga tavuganyiziddwa so nga ye Bernad Mpungu alondeddwa ng’omumyuka we.Kino kisajja kya kusatu eky’omuddiringanwa eri Mpindi okuva lweyatuula mu ntebe mu maka gwa 2010.