ABAANA ABAKOLA EGIVAAMU ENSIMBI: Gav’t esabiddwa okussa essira ku by’enjigiriza e Karamoja
Gavumenti esabiddwa okulaba ng’eyongera okukwatira awamu n’ebitongole byobwanakyeewa mu bitundu by’e Karamoja okulaba nga ebikolwa byokukozesa abaana abataneetuka, emirimu egivamu ensimbi biggwawo. Bino byasanguziddwa bannakyeewa bwe baabadde bakomekkereza pulojekiti yaabwe ey’okuza abaana mu masomero mu bitundu bino ekulungudde emyaka etaano nga mugino abaana enkumi bbiri mu bibiri mu mukaaga be bazziddwa mu masomero nga baggyibwa mu mirimu egivaamu ensimbi.