Ab’eby’obulamu e Kabarole baakutambula nju ku nju mu kawefube w'okumanya obuyonjo bwebuyimiridde
Ab’eby’obulamu e Kabarole mu ggombolola y’e Karangura baakutambula nju ku nju nga balambula buli maka okumanya obuyonjo bwebuyimiridde. Kino bakikola mu kaweefube w’okwagazisa abantu b’omukitundu kino okwettanira okusima kaabuyonja eziri ku mulembe. Baliko kaabuyonjo ey’omulembe gyebatongolezza ku somero lya Mt. Gate Kibaga ekoze nga eky’okulabirako eri abatuuze.