Aba famire ya Lucy Aluka baagala si bamativu ku nfa ye
Poliisi etubuulidde nga bwekyanoonyereza ku nfa y’abadde atwala ebyembeera z’abantu mu disitulikiti ye Kaberamaido Lucy Emima Aluka, eyafiira mu ddwaliro gye yali agenze okulongoosebwamu omwana. Abenganda za Aluka balumiriza ab’eddwaliro lya Soroti Welfare Clinic, omuntu waabwe gye yafiira okumulagajjalira ate ne babaguumaaza okumala essaawa eziwera nti baali bakyamujjanjaba. Akulira eddwaliro lino Godfrey Egau yakwatiddwa Poliisi wabula oluvannyuma nateebwa ku kakalu kaayo nga bwekyakungaanya obujulizi obumuluma.