Okutereeza enkalala za NRM kukomekkerezeddwa leero
Ssaabaminisita Nabbanja anogaanyizza omugaso gwa bannakibiina okwenyigira mu nteekateeka y’okutereeza enkalala ng’agamba nti yengeri yokka egenda okuyamba ekibiina okutambuza okulonda okwamazima n’obwenkanya. Ono leero naye yeegasse ku bannakibiina ku kyalo Kinena e Kakumiro okukebera erinnya lye ku lukalala lw’ekibiina mu kitundu ekyo. Ne sipiika Thomas Tayebwa naye leero lwagenze okukakasa oba ng’erinnya lye liri ku lukala lw’ekibiina mu kitundu mwagenda okulondera.