Ab’e Kanungu beekubidde enduulu olw’enguudo embi
Abakulembeze mu disituliki ye Kannungu baagala gavumenti ebayambe okuddaabiriza enguudo zaabwe okusobozesa ebyobulambuzi okutumbuka mu kitundu kino. Bano bategeezezza ng'enguudo ezisinga mu kitundu kyabwe bwezifuuse akatiiro olw'obubenje obugwawo entakera nga kiva ku mbeera yaazo embi. Onojjukira nti gyebuvuddeko waliwo abalambuzi okuva ebunaayira abaafiira mu kabenje mu kitundu kino.