E Luwero abatuuze ku byalo bina basulirira kugobwa ku ttaka
Abatuuze ku byalo bina mu gombolola ye kitenge mu district ye Mubende bali mu kutya oluvanyuma lw’omusajja eyeeyita nyini ttaka okubalagira okwamuka ettaka lino.Abatuuze abali ku bunkenke bali ku byalo nga Lwengabi, Kabulooka, Mukaleere ne Rwensindizi nga bano balumiriza omusajja Keneth Oweyesigire okubagoba ku ttaka eriweza obugazi bwa square miles nnya.Kyoka Owoyesigyire ayogerwako ebyokugoba abatuuze ku ttaka abyegaanye.