Aba tawuni kanso e Bombo baakuzimba ekifo ba maama we bazaalira
Abakulembeze mu town council y’e Bombo mu district y’e Luwero baakukozesa ensimbi z’ebakunyaanya mu misolo egiva ku bizimbe ebiri mu town council yaabwe okuzima ekisenge ekinene, abakyala mwebazaalira ku ddwaliro lya Bombo Health Centre III okukendeeza ku mujjuzo. Okusinziira mu Meeya w’ekirundu kino Kassim Osman, balaba ng’ensimbi zino okuzikolamu ebintu ebirala gamba ng’okudabiriza enguudo, okuyoola kassasiro n’ebirala ebigwa mu kkowa eryo tekijja kulekawo mukululo ng’okuzimbamu eddwaliro. Bano wabula era basabye government ey’awakati okubakwasizaako.