Abaasimattuka LRA bayise mu kubudaabudibwa obwongo
Gavumenti esabiddwa okulaba ng’ekwatirako bannayuganda abaakosebwa olutalo lw'abayekera ba Lords Resistance Army olwakulungula kumpi emyaka egisoba 20 mu Bukiika-kkono bw'eggwanga.Bannakyewa ababadde bakola ogw’okubabudabuda bagamba nti bano bangi bakyetaaga okubudabudibwa basobole okudda mu mbeera zaabwe entuufu nga abantu ekitali kyangu.Bano bagamba nti betaagayo ensako okusobola okwetandikirawo emirimu kibasobozese okuyimirizaawo obulamu.