Ababaka ba NRM basazeewo ebbago ly’etteeka ly’amagye eriri mu palamenti liggyibweyo
Ababaka ba NRM bategeezezza nga bwe bakkiriziganyizza ku ky'okugira nga baggyayo ebbago ly'ennongoosereza mu tteeka erifuga amagye eribadde lyayanjulwa mu palamenti. Okusinziira ku Nnampala wa Gavumenti Hamson Obua, ebbagoo lino baagala liddemu liteekebweteekebwa okusinziira ku byasembebwa mu nsala ya kkooti ensukkulumu eyaggyawo obuyinza bwa kkooti y'amagye okuwozesa emisango gya nnaggomola ko n'abantu ba bulijjo. Ababaka bano baabadde n'ensisinkano olunaku lw'eggulo ng'enno yakubiriziddwa ssentebe w'ekibiina kyabwe era omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni.