Ababaka baagala abaakoseddwa amataba mu kibuga gavumenti ebayambe
Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akalondoola ebizimbibwa mu ggwanga Dan Kimosho, agamba nti ebizimbe ebitundu 60 ku buli kimu mu Kampala tebirina plan ate nga bingi birodoolwa abantu abatalina bukugu bumala, nga kino kiyinza okuba nga ky'ekivuddeko okwanjaala kw'amazzi mu bitundu by'ekibuga ebimu. Bino bibadde mu lutuula lwa palamenti olwaeero, nga ababaka bakubaganya ebirowoozo ku mataba agaalumbye ekibuga olunaku lw'eggulo. Bangi baasemba ekya gavumenti okudduukirira bonna abaakoseddwa kko n'okufiirwa abantu baabwe n'ebyabwe era gavumenti esuubizza nti bino byonna byakukolwako.