Ababaka bagamba nabo tebategeera ebyavudde mu bya S4
Palamenti ewadde ministule y'ebyenjigiriza nsalessale wa Lwakubiri lwa wiiki ejja, okuba nga ebatuukiridde ebannyonnyole bulungi engeri gye baagereseemu ebyavudde mu bigezo bya Siniya ey'okuna ababaka bye bagamba nti nabo bennyini bikyabalemye okutegeera. Ababaka bagamba nti bakooye abantu ku byalo gye bava okubabembererako nga babasaba babannyonnyole alizaati z'abaana baabwe, ekintu nabo ekyabalemye. Bano era baagala n'okuddibwamu ku biki abayizi abangenda mu Siniya ey'omukaaga bye bagenda okusomesebwa nga baakava mu nsoma empya.Bino bibadde mu lutuula lwa palementi olwaleero.